Kaliyandra: okutandika n’okulabirira nasale

Kaliyandra (Caliandra calothyrsus) kati katono nga kamulisa ebimuli imyufu. Kakula bulungi mubulimbeera z’obudde, kumbalama zenyanja, kunsozi, naye kasinga kukola bulungi mubifo omulimibwa emwanyi. Ettaka eritaddako mmere, ebifo amazzi mwegakunganilra, n’obunyogovu Obungi bukosa okukula kwa Kaliyandra. Akati Kano kakula mangu nnyo era otandika okuganyulwa mumuti guno mubbanga Iya mwaka ggumu nga kamaze okusimbibwa. Omuti guno gusobola okuvaako emmere yebisolo okussuka emyaka kumi. Omuti guno gusobola okusimbibwa awantu wonna munimiro/ faamu engeri gyegutavuganya nabimera birala ebigulirannaye, kasita guba nga gulabiriddwa bulungi okukendeeza kukisikirize kyaagwo okubikka ebimera ebirala.
Download :


This works is licensed under a Creative Commons Attribution 4.0 International License.
Authors
Wambugu C
Publication year
2022